Deuteronomy 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo zaabwe okudda ebuvanjuba nga gwe mugga Yorudani okuviira ddala ku Kinnereti n'okukkira ddala okutuuka ku nnyanja ya Araba, Ennyanja y'Omunnyo, ne wansi w'enkonko za Pisuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugga Yoludaani nga ye nsalo ey’ebugwanjuba mu Alaba, okuviira ddala ku Kinneresi okutuuka ku Nnyanja ya Alaba, ye Nnyanja ey’Omunnyo, wansi w’olugulungujjo lw’olusozi Pisuga ku luuyi olw’ebuvanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku mugga Yoludaani, okuva ku nnyanja Kinneresi mu bukiikakkono, okutuuka ku Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, n'okutuukira ddala wansi w'olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ludda olw'ebugwanjuba, ekitundu kyabwe ne kituuka ku Mugga Yorudaani, okuva ku Nnyanja y'e Galilaaya mu bukiikakkono, okukkira ddala ku Nnyanja y'Omunnyo mu bukiikaddyo, n'okutuuka ku bigere by'Olusozi Pisuga ku ludda olw'ebuvanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne Alaba ne Yoludaani n'ensalo yaagwo; okuva ku Kinneresi okutuusa ku nnyanja ya Alaba, Ennyanja Eyomunnyo, awali entunnumba za Pisuga ku luuyi olw'ebuvanjuba.