Deuteronomy 3:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu budde obwo nabalagira ne mbagamba nti: ‘Omukama Katonda wammwe abawadde ensi eno, mugitwale. Naye mwenna abasajja abeesobola nga mubagalidde ebyokulwanyisa, mukulemberemu baganda bammwe Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo, mmwe ab’ekika kya Lewubeeni, n’ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase, nabalagira nga mbagamba nti, “ Mukama Katonda wammwe abawadde ekitundu ky’ensi kino okubeera obutaka bwammwe. Naye basajja bammwe bonna ab’amaanyi abazira nga beesibye ebyokulwanyisa, be balisooka baganda bammwe abaana ba Isirayiri okusomoka Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugituulamu; naye abasajja bonna abazira, nga bakutte eby'okulwanyisa, banaasomoka ne baganda baabwe abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne mbalagira mu kiseera ekyo nti: ‘Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugyefuga. Kale abaserikale bammwe bonna, basomoke Yorudaani nga babagalidde ebyokulwanyisa, bakulemberemu baganda baabwe ab'Ebika bya Yisirayeli ebirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mbalagira mu biro ebyo nga njogera nti Mukama Katonda wammwe abawadde ensi eno okugirya: munaasomoka nga mukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga baganda bammwe abaana ba Isiraeri, abasajja bonna abazira.