Deuteronomy 3:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo bakazi bammwe, abaana n'ebisolo byammwe, anti mmanyi nti mulina amagana mangi, bijja kusigala mu bibuga bye nabawa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka, bakazi bammwe, n’abaana bammwe balisigala mu bibuga bye nabawa awamu n’ente zammwe ze mulina, ze mmanyi nga bwe ziri ennyingi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe, mmanyi nga mulina ebisibo bingi, binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato, n'amagana gammwe (mmanyi nga mulina amagana mangi), bisigale mu bibuga byammwe, bye nabawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bakazi bammwe n'abaana bammwe abato n'ebisibo byammwe (mmanyi nga mulina ebisibo bingi) binaabeeranga mu bibuga byammwe bye nnabawa;