Deuteronomy 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okutuusa Omukama lw'aliwa baganda bammwe ekiwummulo nga bw'akiwadde mmwe, nabo ne bafuna ensi Omukama Katonda wammwe gy'alibawa emitala wa Yorudani; olwo buli omu aliddayo mu kitundu kye kye namuwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okutuusa nga baganda bammwe bamaze okwetwalira ensi eri emitala w’omugga Yoludaani, Mukama Katonda wammwe gy’abawa; Mukama alyoke awe baganda bammwe ekiwummulo nga nammwe bwe yakibawa. Oluvannyuma mulikomawo mu butaka bwammwe bwe nabagabira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muyambe baganda bammwe okutuusa lwe baliwangula ne bakkalira mu nsi Mukama gy'abawa emitala wa Yoludaani, olwo nammwe ne mulyoka mudda mu butaka bwammwe bwe nnabawa. ’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muyambe baganda bammwe, okutuusa lwe balyefuga ensi, Mukama gy'abawa emitala wa Yorudaani, era okutuusa nabo Mukama lw'alibawa okutebenkera nga mmwe. Olwo mulikomawo, ne mudda, buli muntu ku butaka bwe, bwe nabawa.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okutuusa Mukama lw'aliwa baganda bammwe okuwummula, nga nammwe, era nabo nga balidde ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa emitala wa Yoludaani: ne mulyoka mudda buli muntu mu butaka bwe bwe nnabawa.