Deuteronomy 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mu budde obwo ne Yoswa namulagira nti: ‘Amaaso go galabye Omukama Katonda wammwe by'akoze bakabaka bano ababiri; bw'alikola bw'atyo obwakabaka bwonna gy'oliraga ng'osomose.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo ne ndagira Yoswa, ne mmugamba nti, “Ebyo byonna Mukama Katonda wammwe byakoze bakabaka abo ababiri obyerabiddeko n’amaaso go gennyini. Bw’atyo Mukama bw’alikola obwakabaka bwonna obuli eyo gye mugenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mu biro ebyo ne ndagira Yoswa ne mugamba nti, ‘Olabidde ddala n'amaaso go ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku bakabaka abo ababiri. Bw'atyo Mukama bw'ajja okukola ku buli bwakabaka bwe mugenda okulumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne ndagira Yoswa mu kiseera ekyo, nti: ‘Olabidde ddala n'amaaso go ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze ku bakabaka abo ababiri. Bw'atyo Mukama bw'ajja okukola ku buli bwakabaka bwe mugenda okulumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndagira Yoswa mu biro ebyo nga njogera nti Amaaso go galabye byonna Mukama Katonda wammwe by'akoze bakabaka bano bombi: bw'atyo Mukama bw'alikola obwakabaka bwonna gye musomoka okugenda.