Deuteronomy 3:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye olw'okubeera mmwe Omukama n'ansunguwalira, teyampuliriza, yaŋŋamba bugambi nti: ‘Ekyo kimala. Toddayo n'oyogera nange ku kigambo ekyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’ansunguwalira nnyo ku lwammwe, bye namusaba n’atabiwuliriza. Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’oyogedde bikumale; toddayo kwogera gye ndi nate ku nsonga eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira. Mukama n'aŋŋamba nti, ‘Kikumale; toyogera nate nange ku kigambo ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye Mukama n'ansunguwalira olw'okubeera mmwe, n'atampuliriza. N'aŋŋamba nti: ‘Ekyo kirekere awo. Toddayo kwogera nange ku kigambo ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mukama n'ansunguwalira nze ku bwammwe n'atampulira: Mukama n'aŋŋamba nti Kikumale: toyogera nate nange ku kigambo ekyo.