Deuteronomy 3:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tongoza Yoswa, mukalangule, omugumye, kubanga y'anaasomosa eggwanga lino, era y'alibagabira ensi gy'onoolaba.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obuyinza bukwase Yoswa, omukuutire era omugumye afune amaanyi, kubanga y’agenda okukulembera abantu bano nga basomoka, era ye alibasobozesa okulya ensi eyo gy’ojja okulaba, okubeera obutaka bwabwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kuutira Yoswa omugumye, omuwe amaanyi kubanga ye alikulembera abantu bano okusomoka era ye, ye alibagabira ensi gy'onoolaba.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kuutira Yoswa era omugumye, abe mumalirivu, kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano okwefuga ensi eyo gy'ogenda okulengera.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kuutira Yoswa omugumye omuwe amaanyi: kubanga ye alisomoka ng'akulembera abantu bano, era ye alibasisa ensi gy'oliraba.