Deuteronomy 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo ebibuga bye byonna ne tubiwamba. Tewali kibuga kye tutaabawambako ku bibuga enkaaga, ensi yonna ey'e Arugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era mu kiseera ekyo ne tuwamba ebibuga bye byonna ne tubitwala. Ebibuga enkaaga byonna tekwaliko kibuga na kimu kye tutaabatwalako, ne tutwala amatwale gonna aga Alugobu ag’obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tuwamba ebyali ebibuga bye byonna mu kiseera ekyo. Tewali kibuga na kimu kye tutaabawambako. Byonna awamu byali ebibuga nkaaga (60), eby'omu kitundu kyonna ekya Arugobu, ebyali obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne tuwamba ebyali ebibuga bye byonna mu kiseera ekyo. Tewali kibuga na kimu kye tutaabawambako. Byonna awamu byali ebibuga nkaaga eby'omu kitundu kyonna ekya Arugobu, ebyali obwakabaka bwa Ogi mu Basani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne tunyaga ebibuga bye byonna mu biro ebyo; tewali kibuga kye tutaabanyagaako; ebibuga nkaaga, ensi yonna eya Alugobu, obwakabaka bwa Ogi mu Basani.