Deuteronomy 3:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne tubazikiririza ddala obutalekaawo nga bwe twali tukoze Sikoni kabaka w'e Kesuboni, ne tusaanyaawo abasajja, abakazi n'abaana abato abaali mu bibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twabizikiririza ddala byonna nga bwe twakola ebya Sikoni kabaka w’e Kesuboni, nga tuzikiriza buli kibuga n’abasajja bonna abaakirimu n’abakazi n’abaana abato bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w'e Kesuboni, nga mu buli kibuga tuzikiririza ddala abasajja, n'abakazi, n'abaana abato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne tusaanyaawo ebibuga byonna, ne tuzikiriza abantu bonna abasajja n'abakazi n'abaana abato, nga bwe twakola mu bibuga ebyali ebya Sihoni kabaka w'e Hesubooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne tubizikiririza ddala nga bwe twakola Sikoni kabaka w'e Kesuboni, nga tuzikiririza ddala buli kibuga omuli abantu, wamu n'abakazi n'abaana abato.