Deuteronomy 3:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ebisolo by'awaka n'ebintu ebyanyagibwa mu bibuga twabyetwalira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ente zonna n'ebintu ebirala byonna bye twanyaga mu bibuga ne tubyetwalira ng'omunyago.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ente zonna n'ebintu bye twanyaga mu bibuga, ne tubyetwalira nga gwe munyago gwaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ente zonna n'ebyo bye twanyaga mu bibuga, ne twetwalira okuba omunyago.