Deuteronomy 30:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebyogeddwa bino byonna bwe birikutuukirira: omukisa n'ekikolimo bye ntadde mu maaso go, ne wejjusa muli mu mutima ng'oyima eyo mu mawanga Omukama Katonda wo gy'aliba akusaasaanyirizza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emikisa n’ebikolimo ebyo byonna bye nkutegeezezza, bwe binaakutuukangako n’ojjukiranga ng’oli eyo mu nsi ezo zonna Mukama Katonda wo gy’anaabanga akusaasaanyizza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna eby'omukisa n'ekikolimo bye nkugambye, bwe birimala okukutuukako n'obijjukiriranga mu mawanga gonna Mukama Katonda wo gy'aliba akusaasaanyirizza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebyo byonna eby'omukisa n'ekikolimo bye ntadde mu maaso gammwe, bwe birimala okubatuukako, ne mubijjuukiriranga mu mawanga gonna, Mukama Katonda wammwe gy'abasaasaanyizza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga, ebyo byonna bwe birimala okukujjira, omukisa n'ekikolimo, bye ntadde mu maaso go, naawe bw'onoobijjukiranga mu mawanga gonna Mukama Katonda wo gy'akugobedde,