Deuteronomy 30:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'oliwulira eddoboozi ly'Omukama Katonda wo, n'okwata ebiragiro bye n'amateeka ge, ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky'Etteeka kino, n'odda eri Omukama Katonda n'omutima gwo gwonna n'omwoyo gwo gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’ogondeddenga Mukama Katonda wo, n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye ebiwandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka kino, n’odda eri Mukama Katonda wo n’omukyukiranga n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kasita oligondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, neweekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka; era n'ogondera Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kasita munaamuwuliranga, ne mutuukiriza amateeka ge n'ebiragiro bye, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'Amateeka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba ng'oligondera eddoboozi lya Mukama Katonda wo, okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge ebiwandiikiddwa mu kitabo kino eky'amateeka; oba ng'olikyukira Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna n'emmeeme yo yonna.