Deuteronomy 30:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula ekigambo kikuli kumpi nnyo, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, osobole okukituusanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nedda, ekigambo kiri kumpi ddala ne w’oli, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo, olyoke okigondere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekigambo kikuli kumpi nnyo, mu kamwa ko ne mu mutima gwo olyoke okituukirizenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kiri kumpi nnyo nammwe. Kiri mu kamwa kammwe, ne mu mitima gyammwe, musobole okukituukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekigambo kikuli kumpi nnyo, mu kamwa ko ne mu mutima gwo olyoke okikolenga.