Deuteronomy 30:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nkulagira leero okwagala Omukama Katonda wo, okutambulira mu makubo ge, n'okukwatanga ebiragiro bye, amateeka ge n'ennamula ye. Olwo oliba mulamu; olyala, n'Omukama Katonda wo alikuwa omukisa mu nsi gy'ogenda okuyingiramu ogitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, awamu n’okukwatanga amateeka ge n’okugobereranga ebiragiro bye byonna. Bw’onookolanga bw’otyo ojjanga kuba mulamu era oyale, ne Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa ng’oli mu nsi gy’oyingira okugifuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n'okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge, olyoke obenga omulamu ozaalenga oyalenga era Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu nsi gy'ogenda okutuulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mbalagira olwaleero okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okukoleranga ku by'abakuutira, n'okukuumanga amateeka ge n'ebiragiro bye byonna, mulyoke mubenga balamu, muzaalenga mwale, Mukama Katonda wammwe abawenga omukisa mu nsi gye mugenda okuyingiramu mugyefuge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga nkulagira leero okwagalanga Mukama Katonda wo, okutambuliranga mu makubo ge, n'okwekuumanga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye, olyoke obenga omulamu oyalenga era Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu nsi gy'oyingira okugirya.