Deuteronomy 30:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omutima gwo bwe guliralambala, n'ogaana okuwulira, n'otwalirizibwa, n'ovunnamira balubaale n'obasinza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n’otowulira, era bw’onoosendebwasendebwanga okusinzanga bakatonda abalala n’okubaweerezanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n'ogaana okuwulira, naye n'osendebwasendebwanga n'osinzanga bakatonda abalala n'obaweerezanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye emitima gyammwe bwe ginaawabanga ne mutawulira, era ne musendebwasendebwa, ne musinza balubaale, ne muba baweereza baabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omutima gwo bwe gunaakyamanga n'ogaana okuwulira, naye n'osendebwasendebwanga n'osinzanga bakatonda abalala n'obaweerezanga;