Deuteronomy 30:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwa leero nnangirira nti mazima mugenda kuzikirira; temulibandaala mu nsi gy'osomokera Yorudani oyingire ogitwale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mbalangirira leero nti, Mugenda kuzikirizibwa; era temuliwangaala mu nsi gy’ogenda okusomokera omugga Yoludaani okugiyingira okugifuna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mbategeereza ddala leero nga temulirema kuzikirira; temuliwangaalira mu nsi gye mugenda okutuulamu nga mumaze okusomoka Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mbategeereza ddala olwaleero nga temulirema kuzikirira. Temuliwangaalira mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mbategeereza ddala leero nga temulirema kuzikirira; temulimala nnaku zammwe nnyingi ku nsi gy'osomokera Yoludaani okuyingira okugirya.