Deuteronomy 30:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leero mpita eggulu n'ensi bibalumirize, nti mbateereddewo obulamu n'okufa, omukisa n'ekikolimo. Kale nno londawo bulamu, ggwe n'ezzadde lyo mubeere balamu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku lwa leero nkoowoola eggulu n’ensi nga be bajulirwa bange, ku mmwe, abategedde nga ntadde mu maaso gammwe, obulamu n’okufa; n’emikisa n’ebikolimo. Kale nno londawo obulamu, olyoke obeerenga mulamu, ggwe n’ezzadde lyo:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa; kale londa obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkoowoola olwaleero eggulu n'ensi okuba abajulizi ababalumiriza mmwe, nga ntadde mu maaso gammwe obulamu n'okufa, omukisa n'ekikolimo. Kale mulondeko obulamu, mulyoke mubenga balamu mmwe n'ezzadde lyammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpita eggulu n'ensi okuba abajulirwa gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n'okufa, omukisa n'okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n'ezzadde lyo: