Deuteronomy 30:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oyagale n'Omukama Katonda wo, owulire eddoboozi lye, omunywerereko. Kubanga Omukama bwe bulamu bwo era y'alikuwa okuwangaalira mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjaabo Yiburayimu, Yizaake ne Yakobo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’oyagalanga Mukama Katonda wo, ng’owuliranga eddoboozi lye, era nga weekwatira ddala ku ye. Kubanga Mukama bwe bulamu bwo n’okuwangaala; alyoke akuwenga emyaka mingi mu nsi Mukama gye yalayirira okugiwa bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga eddoboozi lye, wegattenga naye; kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaalakwo; olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira okuwa bajjajjaabo: Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mumuwulirenga, mumunywererengako, kubanga ye bwe bulamu bwammwe, bwe buwangaazi bwammwe. Olwo nno munaabeeranga mu nsi, Mukama Katonda wammwe gye yalayirira okuwa bajjajjammwe Aburahamu, Yisaaka, ne Yakobo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, n'okwegattanga naye: kubanga oyo bwe bulamu bwo, era kwe kuwangaala ennaku zo: olyoke otuulenga mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bo, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, okubawa.