Deuteronomy 30:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo agenda kukomyawo abasibe bo, agenda kukusaasira, addemu okukukuŋŋaanya eyo yonna mu mawanga, gy'aliba akusaasaanyirizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale Mukama Katonda wo anaakusaasiranga n’akuzza mu mbeera yo ennungi eneekweyagazanga, ng’akuwumbyewumbye okukuggya eyo gy’anaabanga akusaasaanyirizza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo Mukama Katonda wo n'alyoka akyusa okunyagibwa kwo, n'akusaasira, n'akomawo n'akukuŋŋaanya okukuggya mu mawanga gonna gye yakusaasaanyiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wammwe anaabakwatirwanga ekisa. Anaabakuŋŋaanyaangayo n'abaggya mu mawanga gonna gye yabasaasaanyiza, n'abakomyawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wo n'alyoka akyusa okunyagibwa kwo; n'akusaasira, n'akomawo n'akukuŋŋaanya ng'akuggya mu mawanga gonna, Mukama Katonda wo gye yakusaasaanyiza.