Deuteronomy 30:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bw'oliba nga wagoberwa eyo ku nkingi z'eggulu, Omukama Katonda wo alikukuŋŋaanyaayo n'akukomyawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde onoobanga owaŋŋangusiriddwa mu nsi esinga okubeera ey’ewala ennyo wansi w’eggulu, Mukama Katonda wo anaakukuŋŋaanyangayo, n’akuggyayo n’akukomyawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bw'oliba ng'osaasaanidde mu nsonda ez'ensi ez'ewala, Mukama Katonda wo alikukuŋŋaanyaayo n'akukomyawo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe muliba musaasaanyiziddwa mu nsonda z'ensi ez'ewala, Mukama Katonda wammwe alibakuŋŋaanyaayo n'abakomyawo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna ku babo abaagobebwa bw'aba ng'ali mu nsonda z'eggulu, Mukama Katonda wo anaakuggyanga eyo okukukuŋŋaanya, era anaakukimanga eyo: