Deuteronomy 30:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alikuzza mu nsi eyali eya bajjajjaabo n'ogitwala. Alikuwa okwesiima n'okwala okusinga ne bajjajjaabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo anaakukomyangawo mu nsi bajjajjaabo gye baafuna, naawe onoogifunanga. Alikugaggawaza era n’akwaza nnyo okukira bajjajjaabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era Mukama Katonda wo alikukomyawo mu nsi gye yawa bajjajjaabo n'oddamu n'ogituulamu; era alikukola bulungi, alikwaza okusinga bajjajjaabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abateeka mu nsi bajjajjammwe gye baafuna, ne mugyefuga, n'abawa mmwe ebirungi, n'abafuula bangi okusinga bajjajjammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era Mukama Katonda wo anaakuyingizanga mu nsi bajjajja bo gye baalya, naawe oligirya; era alikukola bulungi, alikwaza okusinga bajjajja bo.