Deuteronomy 30:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda wo alitayirira omutima gwo n'omutima gw'ezzadde lyo, olyoke oyagale Omukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'omwoyo gwo gwonna, obeere mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo alikomola omutima gwo, n’omutima gwa bazzukulu bo, bw’otyo oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, olyoke obeerenga omulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama Katonda wo aligonza omutima gwo n'ogw'ezadde lyo omwagalenga n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, olyoke obe omulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wammwe aligonza emitima gyammwe n'egy'abaana bammwe, ne muba babe, ne mumwagala n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna, ne muba balamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama Katonda wo alikukomola omutima, n'omutima gw'ezzadde lyo, okwagalanga Mukama Katonda wo n'omutima gwo gwonna, n'emmeeme yo yonna, olyoke obe omulamu.