Deuteronomy 30:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebikolimo byonna agenda kubikyusiza ku balabe bo, ne ku abo abakukyawa n'abakuyigganya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo ne ku abo abanaakuyigganyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo, ne ku abo abaakukyawa era, abaakuyigganyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bammwe, ne ku abo ababakyawa mmwe era abaabayigganyanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama Katonda wo aliteeka ebikolimo ebyo byonna ku balabe bo, ne ku abo abaakukyawa, abaakuyigganyanga.