Deuteronomy 30:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo agenda kukuwa obeere n'omukisa mu mirimu gy'emikono gyo gyonna, n'ezzadde ly'olubuto lwo, ezzadde ly'ebisolo byo, n'ebibala by'ettaka lyo. Omukama aliddamu n'akusanyukira, n'akuwa ebirungi byonna, nga bwe yasanyukira bajjajjaabo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Mukama Katonda wo alikugaggawaza mu buli kintu kyonna ky’onookolanga, mu bibala eby’omubiri gwo, ne mu bibala eby’ebisolo byo, ne mu bibala eby’ettaka lyo. Mukama alisanyuka nnyo okukugaggawazanga n’obeeranga bulungi, nga bwe kyamusanyusanga okugaggawazanga bajjajjaabo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu byonna by'okola, olizaala abaana bangi n'ensolo zo ne zeyongera okwala era n'obaza ebirime. Mukama aliddamu okukusanyukira, nnaakuwa ggwe omukisa nga bwe yasanyukiranga bajjajjaabo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Katonda wammwe anaabawanga omukisa mu byonna bye munaakolanga, ne muzaala abaana bangi, n'ensolo zammwe ne zeeyongera okwala, era ne mubaza ebirime. Mukama aliddamu okusanyukira okubawa mmwe omukisa, nga bwe yasanyukiranga okuguwa bajjajjammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama Katonda wo alikwaza mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo, mu bibala by'omubiri gwo, ne mu bibala by'ekisibo kyo, ne mu bibala by'ettaka lyo, olw'obulungi: kubanga Mukama alikusanyukirako nate olw'obulungi, nga bwe yasanyukira ku bajjajja bo: