Deuteronomy 31:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'abalagira nti: “Ku nkomerero ya buli myaka musanvu, mu mwaka ogw'ekisonyiwo ky'amabanja, ku mbaga ey'Ensiisira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’abalagira bw’ati nti, “Ku buli nkomerero ya myaka musanvu, mu mwaka omutegeke ogusonyiyirwamu amabanja, era nga y’Embaga ey’Ensiisira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abalagira ng'ayogera nti, “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka eky'okusonyiwa n'okusumululiramu ku mbaga Ey'ensiisira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abalagira nti: “Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo okusonyiyirangamu amabanja, ku Mbaga ey'Ensiisira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'abalagira ng'ayogera nti Buli myaka musanvu bwe ginaggwangako, mu kiseera ekyateekebwawo eky'omwaka ogw'okusumululiramu, mu mbaga ey'ensiisira.