Deuteronomy 31:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bonna Abayisirayeli lwe bakuŋŋaana mu maaso g'Omukama Katonda wo mu kifo ky'aliba alonze, osomanga ebigambo by'etteeka lino bonna nga bawulira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri yenna nga bazze okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’aneeronderanga, onoosomeranga Isirayiri yenna amateeka gano gonna nga bawulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaisiraeri bonna nga bazze mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, onoobasomeranga amateeka gano bagawulire.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ng'Abayisirayeli bonna bazze okusinza Mukama Katonda wammwe, mu kifo ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu, munaasomeranga Amateeka gano mu maaso g'Abayisirayeli bonna bawulire.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri yenna nga bazze okulabikira mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza, onoosomeranga amateeka gano mu maaso ga Isiraeri yenna mu matu gaabwe.