Deuteronomy 31:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuŋŋaanya buli muntu: abasajja, abakazi, abato, n'abagwira abasula mu bibuga byammwe, bawulire, bayige okutya Omukama Katonda wammwe, balyoke bakwatenga era batuusenga byonna ebigambibwa mu tteeka lino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuŋŋaanyanga abantu: abasajja, n’abakazi, n’abaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuŋŋaanyanga abantu bonna, abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne bannamawanga abali mu bibuga byo, bagawulire era bagayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bagonderenga ebigambo bino byonna amateeka gano bye galagira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaakuŋŋaanyanga abantu bonna, abasajja n'abakazi n'abaana abato, n'abagwira ababeera mu bibuga byammwe, bawulire era bayige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, n'okukwatanga Amateeka gano gonna, bagatuukirizenga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuŋŋaanyanga abantu; abasajja n'abakazi n'abaana abato, ne munnaggwanga wo ali munda w'enzigi zo, bawulire, era bayige, era batye Mukama Katonda wammwe, era bakwatenga ebigambo byonna eby'amateeka gano okubikola;