Deuteronomy 31:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaana baabwe kati abatannamanya, bawulire, bayige okutya Omukama Katonda wammwe ennaku zonna ze munaaba mu nsi gye musomokera Yorudani mugitwale.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo abaana baabwe abataamanyanga mateeka gano, balyoke bagawulire bayigenga okutyanga Mukama Katonda wammwe, obulamu bwammwe bwonna bwe mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugirya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era abaana baabwe abatannayiga mateeka, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda waabwe, ennaku zonna ze mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okutuulamu nga musomose Omugga Yoludaani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era abaana baabwe abatannagayiga bawulire, bayige okussangamu Mukama Katonda wammwe ekitiibwa ennaku zonna ze mulibeera mu nsi gye mugenda okwefuga nga musomose Omugga Yorudaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era abaana baabwe; abatannamanya, bawulire era bayige okutyanga Mukama Katonda wammwe, ennaku zonna nga mukyatuula mu nsi gye musomokera Yoludaani okugirya.