Deuteronomy 31:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo obusungu bwange bugenda kubeesererako, mbaabulire; ŋŋenda kubakisa amaaso gange, bagenda kuwemmentebwa. Obubenje n'ebizibu bigenda kubagwira, ku olwo bagambe n'okugamba nti: ‘Kituufu, Katonda tali nange, ggwe lwaki ennaku eno yonna ensanga?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera ekyo obusungu bwange ne bulyoka bubabuubuukirako, nange ndibaabulira ne mbekweeka ne bazikirira, balituukibwako ebizibu bingi n'okubonaabona kungi. Olwo lwe balitegeera nti ebizibu ebyo bibatuuseeko kubanga nze Mukama Katonda waabwe nnabaabulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibasunguwalira mu kiseera ekyo. Ndibaabulira ne mbeekweka, ne bazikirizibwa. Balituukibwako ebizibu n'okubonaabona okungi. Olwo balitegeera ng'ebizibu ebyo bibatuuseeko kubanga Nze Katonda waabwe sikyali wamu nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwange ne bulyoka bubuubuuka ku bo ku lunaku luli, nange ndibaleka, era ndibakisa amaaso gange, era baliriibwa, n'obubi n'ennaku ennyingi biribajjira; n'okwogera ne boogera ku lunaku luli nti Obubi buno si kye buvudde butujjira kubanga Katonda waffe tali mu ffe?