Deuteronomy 31:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze ŋŋenda kukisa amaaso gange ku olwo olw'okubeera obwonoonefu bwabwe bwonna bwe baakyukira eri balubaale abagwira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwo ndikwekera ddala amaaso gange olw’ebibi byonna bye banaabanga bakoze nga bakyukidde bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibakisiza ddala amaaso gange olw'ebibi byonna bye baliba bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era sirirema kubeekwekera ddala olw'ebibi byonna bye baliba bakoze, kubanga baliba bakyuse ne basinza balubaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era sirirema kukisa maaso gange ku lunaku luli olw'obubi bwonna bwe baliba nga bakoze, kubanga bakyukidde bakatonda abalala.