Deuteronomy 31:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kale nno kati mwewandiikire oluyimba luno, oluyigirize Abayisirayeli, olubakwase bujjukizi, olubayimbise, lubalumirize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kale nno kaakano wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isirayiri, olubayimbisenga, lulyoke lubeerenga omujulizi wange ku baana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano, wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isiraeri, balukwate lubeerenga omujulirwa gyebali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale kaakano, ggwe wennyini wandiika oluyimba luno, era oluyigirize Abayisirayeli, olubayimbise. Oluyimba luno lwe lunaabanga omujulizi wange alumiriza Abayisirayeli abo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno kaakano mwewandiikire oluyimba luno, era oluyigirize abaana ba Isiraeri: oluteeke mu bumwa bwabwe, oluyimba luno lubeerenga omujulirwa wange eri abaana ba Isiraeri.