Deuteronomy 31:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kati ndi wa myaka kikumi mu abiri, sikyasobola kubakulembera, ate nga n'Omukama yaŋŋamba nti: ‘Togenda kusomoka Yorudani.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Olwa leero mpezezza emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; sikyalina maanyi kusobola kufuluma na kuyingira nga bwe njagala. Sikyasobola kubakulembera. Mukama Katonda antegeezezza nti, ‘Togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Kaakano mpeza emyaka kikumi mu abiri (120); sikyasobola kubakulembera; era Mukama yaŋŋamba nti, ‘Tojja kusomoka Mugga guno Yoludaani.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Olwaleero mpezezza emyaka kikumi mu abiri. Sikyayinza kuba mukulembeze wammwe, era Mukama yaŋŋamba nti: ‘Tojja kusomoka Mugga guno Yorudaani.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Leero naakamaze emyaka kikumi mu abiri; sikyayinza kufuluma na kuyingira: era Mukama yaŋŋamba nti Tojja kusomoka Yoludaani ono.