Deuteronomy 31:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nga mmaze okuyingiza eggwanga eryo mu nsi gye nalayirira bajjajjaabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki, bwe balimala okulya ne bakkuta ne bagejja, bagenda kukyukira eri balubaale, babasinze, nze banjabulire, bamenye endagaano yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe ndimala okubaleeta mu nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, gye nasuubiza bajjajjaabwe nga ngibalayirira, ne balya ne bakkuta ne bagejja, balikyukira bakatonda abalala ne babasinza nga babaweereza, ne bannyooma ne bamenya endagaano yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe ndiba mbayingizza mu nsi gye nnalayirira bajjajjaabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe balirya ne bakkuta, ne bagejja; balikyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, era ne bamenya endagaano yange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga kaakano ŋŋenda okubayingiza mu nsi engimu era engagga, gye nalayirira bajjajjaabwe. Naye bwe balimala okulya ne bakkuta, ne bagejja, balikyukira balubaale ne babaweereza, ne banyooma nze, ne bamenya endagaano yange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe ndiba nga mbayingizizza mu nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki; era bwe baliba nga balidde ne bakkuta, ne bagejja; ne balyoka bakyukira bakatonda abalala, ne babaweereza, ne banyooma nze, ne bamenya endagaano yange.