Deuteronomy 31:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubenje obungi n'ebizibu bwe birimala okubagwira, oluyimba olwo lugenda kubalumiriza, kubanga terugenda kwerabirwa abazzukulu baabwe. Na kati nga sinnaba kubayingiza, mmanyi bulungi bye bagenda okukola mu nsi gye nabalayirira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obubenje obw’akabi bwe bunaabajjiranga, oluyimba luno lunaabasoomozanga ng’omujulizi nga lubalumiriza, kubanga bazzukulu baabwe banaabanga bakyalulina mu kamwa kaabwe nga tebannalwerabira. Kubanga mmanyi bye balowooza okukola nga n’okubatuusa sinnaba kubatuusa mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe banaabanga batuukibbwako akabi n'okubonaabona okungi, oluyimba luno lunaayimbibwanga, ne luba omujulizi abalumiriza, ne bazzukulu baabwe tebaalwerabirenga. Ne kaakano, wadde nga sinnabatwala mu nsi gye nnabalayirira okubawa, mmanyi kye balowooza okukola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera bwe kirituuka ne batuukibwako akabi n'okubonaabona okungi, oluyimba luno lunaayimbibwanga, ne luba omujulizi abalumiriza, kubanga ne bazzukulu baabwe tebaalwerabirenga. Ne kaakano, nga sinnabatwala mu nsi gye nneerayirira okubawa, mmanyi kye balowooza okukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, obubi bungi n'ennaku bwe biriba nga bibajjidde, oluyimba luno lulitegeeza mu maaso gaabwe ng'omujulirwa; kubanga terulyerabirwa okuva mu bumwa bw'ezzadde lyabwe: kubanga mmanyi okulowooza kwabwe kwe bagoberera, ne kaakano, nga sinnabayingiza mu nsi gye nnalayirira.