Deuteronomy 31:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'alagira Yoswa mutabani wa Nuunu nti: “Guma, nywera, kubanga ggwe ojja okuyingiza Abayisirayeli mu nsi gye nabalayirira; nange nzija kubeera naawe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’awa Yoswa mutabani wa Nuuni ekiragiro kino ng’agamba nti, “Beera wa maanyi era guma omwoyo, kubanga ggw’oliyingiza abaana ba Isirayiri mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira; era nange nnaabeeranga naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'alagira Yoswa omwana wa Nuuni ng'ayogera nti, “Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olituusa abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira; nange n'abeeranga wamu naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'ayogera ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'amugamba nti: “Beera mugumu, era mumalirivu, kubanga ggwe olituusa Abayisirayeli mu nsi gye nabalayirira, era nze nnaabeeranga wamu naawe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alagira Yoswa omwana wa Nuni, n'ayogera nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oliyingiza abaana ba Isiraeri mu nsi gye nnabalayirira: nange n'abeeranga wamu naawe.