Deuteronomy 31:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti mmanyi bw'oli omujeemu, ow'ensingo enkakanyavu. Oba mwajeemera Omukama nga nkyali mulamu ndi nammwe, leero alirabisa nga mmaze okufa!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nkumanyi nga bw’oli omujeemu era alina ensingo enkakanyavu. Obanga mubadde mujeemera Mukama Katonda nga nkyaliwo nammwe, kale nga mmaze okufa okujeema kwammwe tekuusingewo nnyo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmanyi obujeemu n'obukakanyavu bwammwe, kubanga ne bwembadde nammwe nga nkyali mulamu mubadde mujeemera Mukama; kale temulyeyongera nnyo okumujeemera nga mmaze okufa”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi nga bwe bali abajeemu era abakakanyavu, kubanga ne leero nga nkyali mulamu, nga ndi wamu nabo, babadde bajeemera Mukama. Kale tebalyeyongera nnyo okumujeemera nga mmaze okufa?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmanyi obujeemu bwo n'ensingo yo enkakanyavu: laba, nga nkyali mulamu nga nkyali wamu nammwe leero, mwabanga mwagala okujeemera Mukama; temulyeyongera nnyo nga mmaze okufa?