Deuteronomy 31:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukuŋŋaanyize we ndi bonna abakulu b'ebika byammwe n'abaami bammwe, njogere ebigambo bino nga nabo bawulira, nkowoole eggulu n'ensi binjulire gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munkuŋŋaanyize wano abakadde b’ebika byammwe abakulembeze bammwe bonna, njogere ebigambo bino mu matu gaabwe nga bawulira; era mpita eggulu n’ensi bibeere abajulirwa okubalumiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'alagira Abaleevi ng'agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abakadde n'abakulu b'ebika, n'abaami bammwe bonna ndyoke njogere ebigambo bino nga bawulira, era nkoowoola eggulu n'ensi okuba abajulirwa gyebali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumpitire abakulu bonna ab'ebika byammwe, n'abakulembeze bammwe, bakuŋŋaane, ndyoke njogere ebigambo bino nga bawulira, nkoowoole eggulu n'ensi, bibe abajulizi ababalumiriza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukuŋŋaanyize gye ndi abakadde bonna ab'ebika byammwe, n'abaami bammwe, ndyoke njogerere ebigambo bino mu matu gaabwe, era mpite eggulu: n'ensi okuba abajulirwa gye bali.