Deuteronomy 31:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mmanyi nti bwe nnaamala okufa mugenda kwonooneka, muve mu kkubo lye mbalagidde. Gye bujja obubenje bujja kubagwira kubanga muliba mwonoonye eri Omukama, ne mumunyiiza olw'ebyo emikono gyammwe bye giriba gikoze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda mulyoke mumusunguwaze olw’ebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mmanyi nga bwe ndimala okufa, balyefuulira ddala babi, ne bagaana okukola bye mbalagidde. Era gye bujja, balituukibwako ebizibu, kubanga baliba basunguwazizza Mukama nga bakola by'alaba nga bibi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga mmanyi nga bwe ndimala okufa, balyefuulira ddala babi, ne bagaana okukola bye mbalagidde. Era gye bujja, balituukibwako ebizibu, kubanga baliba basunguwazizza Mukama nga bakola by'alaba nga bibi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmanyi nga mulyeyonoonera ddala nga mmaze okufa, era mulikyama okuva mu kkubo lye nnabalagira; era obubi bulibabaako mu nnaku ez'enkomerero; kubanga mulikola ekiri mu maaso ga Mukama ekibi, okumusunguwaza olw'omulimu gw'emikono gyammwe.