Deuteronomy 31:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo yennyini ajja kusomoka ng'akukulembeddemu. Agenda kuzikiriza amawanga ago mu maaso gammwe, ensi yaabwe mugitwale. Yoswa agenda kusomoka ng'akukulembeddemu, ng'Omukama bwe yayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo yennyini y’ajja okukukulembera mu kusomoka. Ajja kuzikiriza amawanga ago agali emitala, nga naawe olaba, olyoke obatwaleko ensi yaabwe. Yoswa yennyini naye yajja okukukulembera mu kusomoka, nga Mukama bwe yagambye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wammwe y'alibakulembera okusomoka; alizikiriza amawanga ago ne mugawangula nga mulaba, era Yoswa y'alibakulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wammwe ye alibakulemberamu okusomoka, n'azikiriza, nga mulaba, ab'amawanga agaliyo, ne mwefuga ensi yaabwe. Era Yoswa ye alibakulembera okusomoka, nga Mukama bwe yagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wo y'alikukulembera okusomoka; ye alizikiriza amawanga gano mu maaso go, naawe oligalya: era Yoswa y'alikukulembera okusomoka, nga Mukama bwe yayogera.