Deuteronomy 31:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama agenda kukola amawanga gano kye yakola Sikoni ne Ogi bakabaka b'Abaamori, bwe yabazikiriza wamu n'ensi yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nga Mukama Katonda bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b’Abamoli n’ensi yaabwe, n’abazikiriza, ne bano bw’alibakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama aliwangula abantu abo nga bwe yawangula Sikoni ne Ogi, bakabaka ba b'Abamoli, n'ensi zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama aliwangula abantu abo nga bwe yawangula Sihoni ne Ogi, bakabaka b'Abaamori, be yazikiriza n'ensi yaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alibakola nga bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b'Abamoli, n'ensi yaabwe; be yazikiriza.