Deuteronomy 31:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugume, munywere; temutya, temwekanga olw'okubeera bo, kubanga Omukama Katonda wo yennyini ye mugabe wo, atambula naawe, tagenda kukuleka, wadde okukwabulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mubeere n'amaanyi, mugume omwoyo, temutya so temubatekemukira; kubanga Mukama Katonda wammwe ye nnyini ye aligenda nammwe; taabalekenga so taabaabulirenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mube bagumu era bamalirivu. Temubatya, era tebabatekemula. Mukama Katonda wammwe yennyini ye aligenda nammwe. Talibalekerera, era talibaabulira mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beera n'amaanyi, guma omwoyo, totya so tobatekemukira kubanga Mukama Katonda wo ye wuuyo agenda naawe; taakulekenga so taakwabulirenga.