Deuteronomy 31:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'ayita Yoswa n'amugamba mu maaso ga Yisirayeli yenna nti: “Guma, nywera, anti ggwe ojja okuyingiza eggwanga lino mu nsi, Omukama gye yalayira okuwa bajjajjaabwe; ojja kugibagabira ku kalulu ebeere obusika bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’atumya Yoswa n’amugambira mu maaso ga Isirayiri yenna nti, “Beera wa maanyi era ogume omwoyo; kubanga gw’ojja okugenda n’abantu bano mu nsi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjaabwe okugibawa; era gw’ogenda okugibasalirasaliramu ogibakwase okuba obusika bwabwe obw’enkalakkalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'ayita Yoswa n'amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti, Beera n'amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olikulembera abantu bano okugenda mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaabwe okubawa; era ggwe olibasobozesa okugisikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'ayita Yoswa, n'amugambira mu maaso g'Abayisirayeli bonna nti: “Beera mugumu era mumalirivu. Ggwe ojja okukulembera abantu bano okugenda okwefuga ensi Mukama gye yalayira okuwa bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'ayita Yoswa n’amugamba mu maaso ga Isiraeri yenna nti Beera n'amaanyi, guma omwoyo: kubanga oligenda n'abantu bano mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okubawa; era oligibasisa.