Deuteronomy 32:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yamusanga mu ddungu, mu malungu amakalu agawuuma, n'amusiikiriza, n'amulabirira, n'amukuuma ng'emmunye y'eriiso lye,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yamuyisanga mu ddungu, mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta. Yamuzibiranga, n’amulabiriranga, n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yabasanga babungeetera mu ddungu, ekkalu kibuyaga mw'akuntira, N'abakuuma n'abalabirira, ng'omuntu bw'alabirira emmunye y'eriiso lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yabasanga babungeetera mu ddungu ekkalu kibuyaga mw'akuntira, n'abakuuma n'abalabirira, ng'omuntu bw'alabirira emmunye y'eriiso lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yamusanga mu nsi ey'eddungu, Era mu kigumbo ekyereere ensolo we zikaabira; Yamwetooloolanga, Yamujjanjabanga. Yamukuumanga ng'emmunye y'eriiso lye: