Deuteronomy 32:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'omuzigo oguva mu ggana n'amata agava mu kisibo, ko n'amasavu ag'endiga ennume, n'embuzi ennume eze Basani ez'olulyo, n'empeke z'eŋŋano ezisinga obulungi. Wanywa evviini, omusaayi gw'emizabbibu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo, n’amasavu ag’endiga ento n’ennume, n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani, awamu n’eŋŋaano esinga obulungi, wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yabawa omuzigo gw'ente n'amata okuva mu bisibo byabwe, N'amasavu g'endiga ez'e Basani, n'ennyama y'embuzi ensava, N'abawa n'eŋŋaano ennungi, n'omwenge ogw'emizabbibu omulungi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ente zaabawa omuzigo, era baakama amata mu mbuzi zaabwe. Ne bazaaza endiga engevvu, ne bafuna eŋŋaano ennungi. Ne beesogoleranga omwenge ogw'emizabbibu omuwoomu omuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuzigo gw'ente n'amata g'endiga, N'amasavu g'abaana b'endiga, N'endiga ennume ez'engeri ey'e Basani, n'embuzi emmandwa; N'eŋŋaano eya ssava ng'amasavu g'ensigo; N'onywanga omwenge oguva mu musaayi gw'omuzabbibu.