Deuteronomy 32:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwagalwa yagejja, n'aligita; ng'akkuse yagejja n'anyirira. Yaleka Katonda eyamukola n'anyooma Olwazi, Omulokozi we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala; ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi. Yava ku Katonda eyamukola, n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Yesuluuni bwe yagaggawala n'ajeema; Mwagejjulukuka, ne munyirira, ne munneewulirirako; Ne muva ku Katonda eyabakola, Ne munyooma Olwazi olw'obulokozi bwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abayisirayeli ne bagaggawala, naye ne bajeema. Baagejjuka, emmere n'ebazimbulula. Ne bava ku Mutonzi waabwe, ne banyooma ow'amaanyi, omulokozi waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Yesuluuni n'asavuwala, n'asamba: Wasavuwala, wanenewala, wafuuka munyirivu: N'alyoka aleka Katonda eyamukola, N'anyooma Olwazi olw'obulokozi bwe.