Deuteronomy 32:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baamukwasa obuggya ne balubaale baabwe abalala, ne bamunyiiza n'ebifaananyi byabwe ebya balubaale ebyenyinyalwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baamukwasanga obuggya nga baweereza bakatonda abalala, Baamusunguwazanga n'eby'emizizo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baasenga balubaale, ne bamukwasa obuggya. Baakola ebyenyinyalwa, ne bamusunguwaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baamukwasanga obuggya ne bakatonda abalala, Baamusunguwazanga n'eby'emizizo.