Deuteronomy 32:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baatambirira misambwa, egitali Katonda, balubaale be baali batamanyi, abazze luno jjo, bajjajjaabwe be bataawanga kitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda, eri bakatonda be batamanyangako, bakatonda abaggya abaali baakatuuka bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda, Bakatonda abatamanyiddwa, Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke, Bajjajjaabwe be batasinzanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baatambirira balubaale, sso si Katonda; balubaale abatamanyiddwa, balubaale abaggya, abataasinzibwanga bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baawanga ssaddaaka balubaale abatali Katonda, Bakatonda be bataamanyanga, Bakatonda abaggya abaakajja bayimuke, Bajjajja bammwe be bataatyanga.