Deuteronomy 32:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: ‘Amaaso gange nzija kugabakweka ndabe enkomerero yaabwe bw'eneeba; kubanga zzadde bbambaavu, abaana omutali bwesigwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange ndabe ebinaabatuukako; kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu, abaana abatalinaamu bwesigwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, Naabakisa amaaso gange, Ndiraba enkomerero yaabwe bw'eriba; Kubanga gye mirembe egy'ekyejo ekingi, Abaana omutali kukkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: ‘Nja kubeekweka, ndabe enkomerero yaabwe. Bafuuse zzadde bbi, baana abatalina kukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Naabakisa amaaso gange, Ndiraba enkomerero yaabwe bw'eriba: Kubanga gye mirembe egy'ekyejo ekingi, Abaana omutali kukkiriza.