Deuteronomy 32:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obuswandi bwange bukoleezezza omuliro, ogwokya ne gutuuka n'ekkuzimu mu magombe; gusenkenya ensi na buli kirime kyayo, n'emisingi gy'ensozi gugiteekedde omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro, ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe, gusenkenya ensi n’ebibala byayo, ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obusungu bwange bukoledde ng'omuliro, Bwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo, Era bwokya ensi n'ekyengera kyayo, Era bukoleeza ensozi we zisibuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusungu bwange bukoledde ng'omuliro okwokya buli ekiri ku nsi. Bunaayaka okutuuka emagombe wansi eyo, bwokye emisingi gy'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuliro gukoledde mu busungu bwange; Era gwase okutuuka mu magombe aga wansi ennyo, Era gwokya ensi n'ekyengera kyayo, Era gukoleeza ensozi we zisibuka.