Deuteronomy 32:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebweru ekitala kiribamalako abaana, mu nnyumba zaabwe eriba ntiisa nsa. Omulenzi avubuka n'omuwala embeerera, ebbujje wamu n'omusajja kinviivi balizikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere. Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa, Ne mu nnyumba entiisa en'ebabuutikiranga; Binaazikirizanga omulenzi era n'omuwala, Ayonka era n'omusajja ameze envi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Entalo ebweru n'ekikangabwa mu nnyumba, binattanga abalenzi n'abawala, omukadde ow'envi n'omuto ayonka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebweru ekitala kinaabafuulanga bamulekwa, Ne mu bisenge entiisa; Kinaazikirizanga omulenzi era n'omuwala, Ayonka era n'omusajja ameze envi.